Deuteronomy 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Teweesimbiranga mpagi za Asera oba omuti gwonna okumpi n'omwaliiro gw'Omukama Katonda wo gw'oliba omuzimbidde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tosimbanga miti gya kusinza okumpi n’ekyoto ky’onoozimbiranga Mukama Katonda wo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Temwesimbiranga muti gwonna okuba ng'akabonero ka katonda Asera, ku mabbali g'ekyoto kya Mukama Katonda wammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe munaabanga mukolera Mukama Katonda wammwe alutaari, temuusimbenga muti gwa kabonero ka lubaale Asera mu mabbali gaayo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teweesimbiranga muti gwonna okuba Asera ku mabbali g'ekyoto kya Mukama Katonda wo, ky'oneekoleranga.