Deuteronomy 16:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era tosimbanga mpagi ya jjinja. Omukama Katonda wo bino abikyawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wadde okuyimirizangawo empagi ey’amayinja ey’okusinzanga; kubanga ebyo byonna Mukama Katonda wo tabyagala abikyayira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So temwesimbiranga mpagi ey'ejjinja eya katonda omulala yenna, kubanga ekyo Mukama Katonda wammwe akikyayira ddala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era temuusimbenga mpagi ya jjinja eya balubaale, Mukama Katonda wammwe gy'akyawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So teweeyimiririzanga mpagi; Mukama Katonda wo gy'akyawa.