Deuteronomy 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Toliirangako mugaati guzimbulukuse; okumala ennaku musanvu onoolyanga migaati egitazimbulukuse, omugaati gw'okubonaabona, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu. Bw'otyo, ennaku zonna ez'obulamu bwo, ojjukirenga olunaku lwe wava mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku mbaga eno temulyanga mmere nzimbulukuse okumala ennaku musanvu, naye munaalyanga emmere eteri nzimbulukuse, y'emmere ey'okunakuwala, kubanga mwava mu nsi y'e Misiri nga mwanguyirira. Munajjukiranga olunaku lwe mwaviiramu mu nsi ey'e Misiri ennaku zonna ez'obulamu bwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuukiriirengako migaati gizimbulukusiddwa. Munaamalanga ennaku musanvu nga mukiriirako migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe mwakola nga muva mu nsi y'e Misiri mu bwangu. Egyo gye migaati egy'okunakuwala. Munaagiryanga mulyoke mujjukire mu bulamu bwammwe bwonna olunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolyanga mmere nzimbulukuse wamu nakwo; onoomalanga ennaku musanvu ng'olya emmere eteri nzimbulukuse wamu nakwo, ye mmere ey'okunakuwala; kubanga wava mu nsi y'e Misiri ng'oyanguwa: ojjukirenga olunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri ennaku zonna ez'obulamu bwo.