Deuteronomy 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wonna mu nsi yo, okumala ennaku musanvu temulabikangamu kizimbulukusa. Ennyama etambirwanga akawungeezi k'olunaku olusooka, tesulangawo okutuusa enkeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nsi yammwe temubeerangamu alina ekizimbulukusa mu nnyumba ye okumala ennaku musanvu, era n'ennyama ey'ensolo ezitiddwa akawungeezi ku lunaku olwolubereberye tesulangawo okutuusa enkya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsi yammwe temuubeerengamu alina kizimbulukusa mu nnyumba ye okumala ennaku musanvu. Era ennyama y'ensolo ezitambiddwa akawungeezi k'olunaku olubereberye, teesulengawo okutuusa enkeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewalabikanga gy'oli kizimbulukusa mu nsalo zo zonna ennaku musanvu; so tewasigalangawo ku nnyama, gy'onottanga ku lunaku olw'olubereberye akawungeezi, okusulawo okukeesa obudde.