Deuteronomy 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Totambiranga Pasika mu buli kibuga kyo Omukama Katonda wo ky'aliba akuwadde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo Mukama Katonda wo by’akuwa, ekiweebwayo eky’Okuyitako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tottiranga ensolo eziweebwayo olw'Okuyitako munda mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by'akuwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, temuukiweerengayo mu kibuga na kimu mu ebyo Mukama Katonda wammwe by'abawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tottiranga Kuyitako munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo, Mukama Katonda wo z'akuwa: