Deuteronomy 16:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula mu kifo kyokka Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye. Eyo gy'otambiriranga Pasika akawungeezi enjuba ng'egwa, ku lunaku lw'ojjuukirirako okuva kwo mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye munnazittiranga mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza akawungeezi, enjuba ng'egwa, nga bwe kyali nga muva e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye munaakiweerangayo mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Eyo gye munaakiweerangayo akawungeezi, ng'enjuba egwa, mu kiseera nga kye mwaviiramu mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, eyo gy'onottiranga Okuyitako akawungeezi, enjuba ng'egwa, mu biro bye waviiramu mu Misiri.