Deuteronomy 16:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogifumbiranga mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze era mw'ogiriiranga; ku makya ositukanga n'odda mu weema zo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munaagyokyanga ne mugiriira mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza; enkeera ne muddayo mu weema zammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaakifumbanga ne mukiriira mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, olwo enkeera ne muddayo mu weema zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onookwokyanga n'okuliiranga mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza: era onookyukanga enkya, n'ogenda mu weema zo.