Deuteronomy 16:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okumala ennaku musanvu onoolyanga migaati egitazimbulukuse; ku lwomusanvu oyitanga olukuŋŋaana olw'ekitiibwa olw'Omukama Katonda wo; tokolanga mulimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimu gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku omukaaga eziddirira, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza Mukama Katonda wammwe, era temuulukolerengako mirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimu gwonna.