Deuteronomy 17:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda wo tomutambiriranga ndiga oba nte eriko akamogo oba enkeka yonna, kubanga ekyo Omukama Katonda wo akyenyinyala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toleetanga kiweebwayo eri Mukama Katonda wo eky’ente oba eky’endiga ng’eriko akamogo oba ekikyamu kyonna, kubanga ebiri ng’ebyo Katonda wo abikyayira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuwangayo ente newakubadde endiga eriko obulema oba akamogo konna okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe kubanga ekyo kya muzizo gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temuuwengayo kitambiro eri Mukama Katonda wammwe eky'ente oba endiga eriko akamogo, oba akantu konna akatali kalungi, kubanga ekyo Mukama Katonda wammwe akikyayira ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tosalanga okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wo ente newakubadde endiga eriko obulema oba ekitali kirungi kyonna: kubanga ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo.