Deuteronomy 17:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okolanga nga bwe bakugambye nga bayima mu kifo ekyo Omukama kye yalonda. Wekkaanye, bye bakusabanga okukola obituukirizanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onookoleranga ku nsala yaabwe eyo gye banaakuwanga mu kifo ekyo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. Weegenderezanga nnyo n’okola ebyo bye banaabanga bakulagidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe munaasalanga omusango nga bwe banaabalaganga nga bayima mu kifo Mukama ky'alyeroboza. Muneegenderezanga okukolanga ebyo byonna bye banaabanga babalagidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaakolanga kye babagambye nga bali mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Era munassangako omwoyo okutuukiriza byonna bye banaabanga babalagidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naawe onookolanga ng'omusango bwe gunaabanga, gwe banaakulaganga nga bayima mu kifo Mukama ky'alyeroboza; era onookwatanga okukola nga byonna bwe binaabanga bye bakuyigiriza: