Deuteronomy 17:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bye babanga bakulagidde n'ensalawo yaabwe by'okolerangako; towunjukanga kudda ku ddyo oba ku kkono n'ova ku bye bakugambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kinaakugwaniranga okukola ng’amateeka ge banaabanga bakunnyonnyodde bwe gagamba, n’ensala yaabwe nga bw’eneebanga gye banaakutegeezanga. Bye banaakutegeezanga tobivangako kulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munakkirizanga ensala yaabwe, ne mutuukiriza ebyo byonna bye babalagidde awatali kukyusaamu wadde okuwunjawunja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munakkirizanga ensala yaabwe, ne mutuukiriza byonna bye babalagidde awatali kukyusaamu wadde okuwunjawunja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'etteeka bwe linaabanga lye banaakuyigirizanga, era ng'ensala bw'eneebanga gye banaakubuuliranga, onookolanga bw'otyo: tokyamanga okuva mu musango gwe banaakulaganga okugenda ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono: