Deuteronomy 17:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wabangawo eyeekuluntaza n'anyooma omulamuzi oba kabona aweereza Omukama Katonda wo mu budde obwo, omuntu oyo attibwanga buttibwa. Ekibi kino kirina okuggyibwawo mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna anaanyoomanga omulamuzi oba kabona eyateekebwawo okuweereza Mukama Katonda wo, omuntu oyo wa kufa. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna anaajeemeranga ensala ya Kabona aweereza mu Maaso ga Mukama, oba omulamuzi, omuntu oyo anaafanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu anaakolanga emputtu n'atawulira kabona ali eyo mu luwalo lw'okuweereza mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, oba anaajeemeranga omulamuzi, anattibwanga, bwe mutyo ne muggyawo ekibi mu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu anaakolanga eby'ekyejo, nga tawulira kabona ayimirira eyo okuweerereza mu maaso ga Mukama Katonda wo, oba mulamuzi, omuntu oyo anaafanga: era onoggyangawo obubi obwo mu Isiraeri.