Deuteronomy 17:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'oliyingira ensi Omukama Katonda wo gy'alikuwa, n'ogitwala, n'ogibeeramu, ekirowoozo kimala kikujjira nti: ‘Ka neeteerewo kabaka, ng'amawanga gonna aganneetoolodde bwe gamulina,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’ogirya, n’obeera omwo, oliyinza okugamba nti, “Leka neeteekerewo kabaka ananfuganga okufaanana ng’amawanga amalala gonna aganneebunguludde;”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe muliba nga mutuuse mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu; ne musalawo okussaawo kabaka okubafuga ng'amawanga gonna agabeetoolodde bwe gali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mulimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa nga mugyefuze ne mukkalira omwo, muliyinza okugamba nti: ‘Tweteerewo kabaka, ng'ab'amawanga gonna agatwetoolodde.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'oliba ng'otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, n'ogirya, n'otuula omwo; n'oyogera nti Nassaawo kabaka okunfuga, era nga n’amawanga gonna aganneetoolodde;