Deuteronomy 17:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wekkaanye, oyo yekka Omukama Katonda wo gw'aliba akulondedde ng'amuggya mu baganda bo, gw'ofuulanga kabaka. Togezanga n'olonda omugwira, atali muganda wo, okuba kabaka wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weegenderezanga n’ossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gw’anaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mussangawo omu ku baganda bammwe, Mukama gw'alyeroboza okuba kabaka okubafuga; si kirungi mmwe okussaawo mu nnaggwanga okubafuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumalanga kukakasa nti muteekawo oyo Mukama gw'aliba yeerobozezza. Mussangawo omu ku b'eggwanga lyammwe okuba kabaka wammwe. Temugezanga ne mweteerawo omugwira, atali wa ggwanga lyammwe okubafuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tolemanga kussaawo oyo okuba kabaka okukufuga, Mukama Katonda wo gw'alyeroboza: omu ku baganda bo gw'olissaawo okuba kabaka okukufuga: si kirungi ggwe okussaawo munnaggwanga okukufuga, atali muganda wo.