Deuteronomy 17:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kyokka teyeekuŋŋaanyizanga mbalaasi nkumu, era tazzanga bantu mu Misiri bamufunireyo endala okusingawo, kubanga Omukama yabagaana dda nti: ‘Temugezanga ne muddayo eyo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku z’alina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka kabaka tagezangako okwefunira embalaasi ennyingi wadde okuzzaayo abantu e Misiri alyoke yefunire embalaasi ennyingi; kubanga Mukama yabagamba nti Temuddangayo nate mu kkubo eryo okuva kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka kabaka tagezanga okwefunira embalaasi ennyingi, wadde okuzzaayo abantu mu Misiri ayongere okufunayo embalaasi ezisingawo obungi, kubanga Mukama yabagamba mmwe nti: ‘Temuddengayo eyo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka teyeefuniranga mbalaasi nnyingi, so tazzangayo bantu mu Misiri, alyoke yeefunire embalaasi ennyingi: kubanga Mukama yabagamba nti Temuddangayo nate mu kkubo eryo okuva kaakano.