Deuteronomy 17:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abeeranga nakyo, n'akisomanga ennaku zonna ez'obulamu bwe, alyoke ayige okutya Omukama Katonda we, n'okutuusa ebigambo by'etteeka lino n'ebiragiro byonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ng’agobereranga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaabeeranga nakyo, era anaakisomangamu ennaku zonna ez'obulamu bwe; ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby'etteeka lino n'ebiragiro bino okubikolanga:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kinaamubeeranga kumpi n'akisomangamu mu bbanga ery'obulamu bwe bwonna, alyoke ayige okussangamu Mukama Katonda we ekitiibwa, n'okukuumanga ebigambo byonna eby'amateeka gano n'ebiragiro bino, era n'okubituukirizanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kinaabeeranga gy'ali, era anaakisomangamu ennaku zonna ez'obulamu bwe: ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby'etteeka lino n'ebiragiro bino okubikolanga: