Deuteronomy 17:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu bibuga byo Omukama Katonda wo by'alikuwa bwe musangibwangamu omusajja oba omukazi, omu ku mmwe, akola ekibi mu maaso g'Omukama Katonda wo, ng'amenya endagaano ye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna omusajja oba omukazi abeera mu mmwe, mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa, bw’anaakwatibwanga ng’akoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo, ng’amenye endagaano ya Mukama,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wanaalabikangawo mu kimu ku bibuga byammwe Mukama Katonda wammwe by'abawa, omusajja oba omukazi asobezza endagaano,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wanaabangawo mu kimu ku bibuga byammwe Mukama Katonda wammwe by'abawa, omusajja oba omukazi akola ekibi n'amenya endagaano ya Mukama Katonda wammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wanaalabikanga wakati wo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo Mukama Katonda wo z'akuwa, omusajja oba mukazi, akola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, ng'asobya ku ndagaano,