Deuteronomy 17:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
aleme kwekuliza ku baganda be, n'awunjuka ng'adda ku ddyo oba ku kkono n'ava ku tteeka. Olwo ye n'abaana be lwe baliwangaala nga balamula obwakabaka bwe mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bw’anaakolanga bw’atyo, ye, n’ezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omutima gwe gulemenga okwegulumiriza ku ba Isiraeri banne, era alemenga okukyama okuva ku biragiro bino; olwo alyoke awangaale ennaku nnyingi ku bwakabaka bwe, ye n'abaana be, mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omutima gwe gulemenga kwekulumbaliza ku Bayisirayeli banne, era alemenga kuwaba n'akatono okuva ku biragiro bino. Olwo aliwangaalira ku bwakabaka bwe, n'ab'ezzadde lye ne babuwangaalirako mu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omutima gwe gulemenga okugulumizibwa ku baganda be, era alemenga okukyama okuva mu kiragiro okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono: alyoke awangaale ennaku nnyingi mu bwakabaka bwe, ye n'abaana be, wakati mu Isiraeri.