Deuteronomy 17:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'asinza balubaale n'abavunnamira, oba n'avunnamira enjuba, omwezi oba eby'eggye ly'eggulu byonna nze bye ssaabalagira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ng’ajeemedde ekiragiro kyange n’asinza bakatonda abalala, ng’enjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ez’oku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'aweereza ba katonda abalala n'abasinza, oba njuba, oba mwezi, oba mmunnyeenye bye ssaalagira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'agenze n'aweereza era n'asinza balubaale, oba enjuba, oba omwezi, oba ezimu ku mmunyeenye, ng'awakanya ekiragiro kya Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ng'agenze n'aweereza bakatonda abalala n'abasinza, oba njuba, oba mwezi, oba ku ggye ery'omu ggulu, bye ssaalagira;