Deuteronomy 17:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kino ne bakikubuulirako, okibuulirizangako bulungi ddala. Bwe kiba nga kituufu era nga kikakafu nti ekyenyinyalwa ekyo kyakolebwa mu Yisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ng’ekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe banaababuuliranga, ne mukiwulira, munaanyiikiranga okubuuliriza, era bwe kinaabanga eky'amazima, nga tekibuusibwabuusibwa, eky'omuzizo ekyo nga kikolebwa mu Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bakibabuulira ne mukiwulira, mubuulirizanga n'obwegendereza. Bwe kinaabanga eky'amazima era ekikakafu ekitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekyenkanidde awo kikoleddwa mu Yisirayeli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bakubuulira era ng'okiwulidde, n'olyoka onyiikiranga okubuuliriza, era, laba, bwe kinaabanga eky'amazima, ekigambo ne kitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekiri bwe kityo kikolerwa mu Isiraeri;