Deuteronomy 17:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omusajja oba omukazi eyakola ekibi ekyo omufulumyanga ebweru wa wankaaki n'omuttira eyo n'amayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
onoofulumyanga omusajja oyo, oba omukazi oyo, akoze ekibi ekyo, wabweru wa wankaaki w’ekibuga n’omukuba amayinja, n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale munaafulumyanga omusajja oyo oba omukazi oyo akoze ekibi ekyo ebweru w'ekibuga kyammwe ne mubakuba amayinja n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omusajja oyo oba omukazi oyo akoze ekintu ekyo ekibi, munaamufulumyanga ebweru w'ekibuga kyammwe ne mumukuba amayinja n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'olyoka ofulumyanga omusajja oyo oba mukazi oyo, abakoze ekigambo ekyo ekibi, awali enzigi zo, omusajja oba mukazi; kale onoobakubanga amayinja bafe.