Deuteronomy 17:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu okuttibwanga wateekwa okubaawo obujulizi bwa bantu b'ekibuga kyo babiri oba basatu obumulumiriza; mpaawo attibwanga ng'alumiriziddwa omujulirwa omu yekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bw’omuntu omu yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabula olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba abasatu lw'anattibwanga; naye bw'anaabanga omujulirwa omu yekka tattibwenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula anattibwanga nga waliwo abajulizi babiri oba basatu abamulumiriza. Bwe wanaabangawo omujulizi omu yekka amulumiriza, omuntu oyo tattibwenga. Beb 10:28
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba bajulirwa basatu, agenda okufa bw'anattibwanga; olw'akamwa k'omujulirwa omu tattibwanga.