Deuteronomy 17:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kumutta, omukono gw'amulumiriza gwe gumusookangako, olwo n'emikono gy'abalala. Ekibi kino muteekwa okukiggyirawo ddala mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abajulizi be banaasookanga okukasuukirira omuntu oyo amayinja, n’abalala ne bagoberera. Kinaakusaaniranga okwemalangako ebibi ebinaabeeranga wakati mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abajulirwa be banaasookanga okumukuba amayinja, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba amayinja okumutta; bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abajulizi be banaasookanga okumukuba amayinja okumutta, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba, bwe mutyo ne mweggyako ekibi ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukono gw'abajulirwa gwe gunaasookanga okumubaako okumutta, omukono gw'abantu bonna ne gulyoka gumubangako: Bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi wakati wo.