Deuteronomy 17:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Singa emisango egireetebwa mu mbuga zammwe mubeerangamu ogukulemeredde okulamula, ng'egy'okuyiwa omusaayi, okusoowagana, n'okulwanagana, ogitwalanga mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo Mukama Katonda wo ky’anaabanga yeerondedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wanaabangawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe, ng'egy'obussi, enkaayana z'ebintu, oba ebisago ebituusiddwa ku bantu, olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama ky'alyeroboza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Wanaayinzanga okubaawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe ng'egy'abakaayanira ebintu, oba egy'ebisago ebituusiddwa ku bantu, oba egy'okwawula obutemu n'okutta omuntu mu butali bugenderevu. Olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wanaabangawo ensonga ekulema okugisalira omusango, nga bavunaana omusaayi n'omusaayi, nga bavunaana ensonga n'ensonga, era nga bavunaana omuggo n'omuggo, nga bawakanira ebyo munda w'enzigi zo: kale onoogolokokanga, n'oyambuka mu kifo Mukama Katonda ky'alyeroboza;