Deuteronomy 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ggwe temubangamu awonga mutabani we oba muwala we mu muliro, oba akola eby'obulaguzi, omusawo w'emizimu, asoma obubonero, omulogo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewabeerangawo omuntu n’omu alirabika ng’ayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ng’ekiweebwayo, oba ng’akola ng’omulaguzi, oba omulogo, oba omusawo w’ekinnansi, oba avvuunula eby’omu biseera ebijja,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewabangawo omuntu yenna mu mmwe awaayo mutabani we oba muwalawe okwokebwa mu muliro nga ssaddaaka; newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire, newakubadde omulogo, newakubadde omuganga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewaabenga n'omu mu mmwe ayisa mutabani we oba muwala we mu muliro okumuwaayo okuba ekitambiro, wadde akola eby'okulagula, n'eby'obulogo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewalabikanga gy'oli muntu yenna ayisa mu muliro mutabani we oba muwala we, newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire; newakubadde omulogo, newakubadde omuganga,