Deuteronomy 18:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ebyo byonna Omukama abyenyinyala; era lwa kubeera ebyo Omukama Katonda wo kyaliva abagoberawo amawanga ago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna anaakolanga ebintu ng’ebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga ab’omu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ng’ogiyingira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama; era olw'emizizo egyo, Mukama Katonda wammwe kyava abagoba mu nsi gye mugendamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama Katonda wammwe akyawa abakola ebintu ebyo ebyenyinyalwa era kyava agoba ab'amawanga ago mu nsi, mmwe nga mulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama: era olw'emizizo egyo Mukama Katonda wo kyava abagoba mu maaso go.