Deuteronomy 18:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Amawanga ago ge mugenda okutwala, bawuliriza abalaguzi n'abalogo, naye ggwe Omukama Katonda wo takukkiriza kukola bw'otyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde ng’abantu ab’omu mawanga ago b’ogenda okulyako ensi yaabwe, bagondera nnyo abalaguzi n’abasamize, naye ebyo Mukama Katonda wo, ggwe, takukkiriza kubikola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga amawanga gano ge mugenda okugoba mu nsi gye mugendamu, beebuuza ku abo abalaguza ebire n'abafumu; naye mmwe Mukama Katonda wammwe abagaanyi okukolanga bwe mutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ab'amawanga ago ge mugenda okwefuga, bawuliriza abalaguzi n'emmandwa. Naye mmwe, Mukama Katonda wammwe tabakkirizza kukolanga bwe mutyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amawanga gano g'olirya, bawulira abo abalaguza ebire n'abafumu: naye ggwe Mukama Katonda wo takuganyizza kukolanga bw'otyo.