Deuteronomy 18:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo alibasibusiza mu mmwe omulanzi ali nga nze okuva mu baganda bammwe; oyo omuwuliranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo agenda kukuyimusiza Nnabbi ali nga nze, ng’amuggya mu bantu bo. Nnabbi oyo mumuwulirizanga era mumugonderanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi, ava mu baganda bammwe, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wammwe alibayimusiza omulanzi mu mmwe, ow'eggwanga lyammwe, ali nga nze. Oyo gwe muliwulira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Makama Katonda wo alikuyimusiza nabbi wakati wo, ku baganda bo, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira;