Deuteronomy 18:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebaabenga na busika mu baganda baabwe; anti Omukama yennyini bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga Mukama Katonda yabasuubiza nga y’anaabanga obusika bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebabanga na butaka mu baganda baabwe; Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebaabenga na ttaka ng'ab'ebika ebirala. Omugabo gwabwe kwe kubeera bakabona ba Mukama, nga bo bwe yabagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebabanga na busika mu baganda baabwe: Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.