Deuteronomy 18:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omulanzi alyetumiikiriza okwogera mu linnya lyange nze bye simutumye, oba alyogera mu linnya lya balubaale, attibwanga buttibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nnabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkirizza bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nnabbi oyo anaafanga.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omulanzi aneetulinkirizanga n'ayogera mu linnya lyange ebigambo bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya balubaale, omulanzi oyo anaafanga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkiridde, bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nabbi oyo anaafanga.