Deuteronomy 18:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi bw'anaalanganga mu linnya ly'Omukama, ky'alanze ne kitatuukirira, ng'omanya nti ekyo Omukama si ye yakyogera; omulanzi oyo yeetumiikiriza bwetumiikiriza; oyo tomutyanga.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lya Mukama bwe bitaatuukirirenga oba bwe bitaabenga bya mazima, ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’abyogedde. Nnabbi oyo by’anaabanga ayogedde anaabanga abiyiiyizza buyiiya. Ebyo tebibatiisanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnabbi bwanetulinkirizanga, n'ayogera mu linnya lya Mukama, byayogedde ne bitabaawo oba ne bitatuukirira, oyo temumutyanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulanzi bw'ayogera mu linnya lya Mukama, ky'ayogedde ne kitabaawo oba ne kitatuukirira, ekyo kye kiba ekintu Mukama ky'atayogedde. Omulanzi aba akyogedde aba yeetulinkirizza, kale temumutyanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabbi bw'anaayogeranga mu linnya lya Mukama, ekigambo ekyo bwe kitajja so tekituukirira, ekyo kye kigambo Mukama ky'atayogedde: nabbi ng'akyogedde nga yeetulinkiridde, tomutyanga.