Deuteronomy 18:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Guno gwe mugabo oguddira bakabona okuva ku bantu abatambira ente ennume oba endiga: omukono, emba zombi n'ebyenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bakabona bye banaagabananga ku biweebwayo eby’ente za sseddume n’endiga abantu bye banaabanga baleese: bakabona banaafunangako omukono n’emba zombi, n’eby’omu lubuto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawangayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, n'enda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Guno gwe mugabo, abantu abawaayo ekitambiro gwe banaawanga bakabona: bw'eba ente oba endiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, n'ebyenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawangayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, ne ssebusa.