Deuteronomy 18:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Omukama Katonda wo ye ne batabani be yabaawula mu bika byo byonna, okuyimirira baweerezenga mu linnya ly'Omukama emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda wo yeeroboza Leevi n’ezzadde lye mu bika byo byonna okuweerezanga mu linnya lya Mukama emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu bika byammwe byonna Mukama Katonda wammwe yerobozamu ekika kya Leevi okumuweerezanga ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mu bika byammwe byonna, Mukama Katonda wammwe yeerobozaamu ab'Ekika kya Leevi okumuweerezanga ennaku zonna mu Weema ey'Okumusisinkanirangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama Katonda wo yamweroboza mu bika byo byonna, okuyimiriranga okuweerezanga n'erinnya lya Mukama, ye ne batabani be emirembe gyonna.