Deuteronomy 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
akkirizibwa okuweereza mu linnya ly'Omukama Katonda we nga baganda be bonna Abaleevi abaweereza mu kifo ekyo mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
anaayinzanga okuweereza mu linnya lya Mukama Katonda we okufaanana nga Abaleevi banne abalala aba buli kiseera abanaabanga baweereza mu linnya lya Mukama Katonda mu kifo ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naaweerezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe nga baganda be bonna Abaleevi abaweerereza eyo mu maaso ga Mukama bwe bakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
anaaweerezanga Mukama Katonda we nga baganda be Abaleevi abalala bonna abayimirira mu maaso ga Mukama, bwe bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
anaaweerezanga n'erinnya lya Mukama Katonda we, nga baganda be bonna Abaleevi bwe bakola, abayimirira eyo mu maaso ga Mukama,