Deuteronomy 18:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wa kufunanga kyenkanyi ku mugabo gwe bagabana, newandibadde nga ye yafunayo dda ku kantu bwe yatunda bye yali ow'okusikira ku kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaagabananga kyenkanyi ne banne abaabulijjo, ne bw’anaabanga ng’alina ensimbi ezize ku bubwe z’anaabanga aggye mu by’omu maka ge by’atunze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaafunanga omugabo gwe mmere gwe gumu nga banne, nga tobaliddeeko ebyo by'anaabanga afunye mu b'eŋŋanda ze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaafunanga omugabo gw'emmere gwe gumu nga banne, nga tobaliddeeko ebyo by'anaabanga afunye mu b'eŋŋanda ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Banaabanga n'emigabo egyenkanankana okulya, obutassaako ebyo ebivudde mu kutunda obutaka bwe.