Deuteronomy 18:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'oyingiranga mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, toyiganga okuyisa empisa ezeenyinyalwa ez'amawanga ago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onooyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, weekuume obutayiga kukopperera mpisa embi ez’abantu ab’omu mawanga g’olisanga mu nsi omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe mutuukanga mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temugezanga ne muyiga okukola eby'emizizo eby'amawanga ago bye bakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mulimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temugezanga ne muyiga okukola eby'omuzizo, ng'ab'amawanga ago bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, toyiganga kukola ng'eby'emizizo eby'amawanga gali bwe biri.