Deuteronomy 19:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda wo bw'alimala okuzikiriza amawanga agali mu nsi gy'agenda okukuwa ebeere eyiyo, nga naawe omaze okubagobawo n'obeera mu bibuga byabwe ne mu mayumba gaabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo bw’alimala okuzikiriza amawanga kaakano agali mu nsi gy’akuwa, n’ogyefunira, ne weetwalira ebibuga byabwe, n’amaka gaabwe n’obeera omwo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama Katonda wammwe bw'alizikiriza amawanga agali mu nsi gy'abawa okuba obutaka, ne mutuula mu bibuga byabwe ne mu nnyumba zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Katonda wammwe bw'alimala okuzikiriza ab'amawanga amalala, kaakati abali mu nsi mmwe gy'abawa, ne mudda mu kifo kyabwe, ne mubeera mu bibuga byabwe, ne mu mayumba gaabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wo bw'alizikiriza amawanga, Mukama Katonda wo ensi yaago gy'akuwa, on'obasikira, n'otuula mu bibuga byabwe ne mu nnyumba zaabwe;