Deuteronomy 19:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo omusaayi ogutaliiko musango teguliyiibwa mu nsi Omukama Katonda wo gy'alikuwa ng'obusika; oleme kuvunaanibwa gwa kuyiwa musaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gw’omuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulikola bwe mutyo, abantu abataliiko musango baleme kuttirwa mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, nammwe ne mubaako omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulikola bwe mutyo, sikulwa ng'abantu abataliiko musango battibwa mu nsi yammwe Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, ne muba n'omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omusaayi ogutaliiko musango guleme okuyiika mu nsi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika, bwe kityo omusaayi ne gukubaako.