Deuteronomy 19:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye ng'omuntu akyaye munne, amala amwekwekerera, n'amukuba n'afa, oluvannyuma n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuntu bw’anaabanga n’ekiruyi ku munne, n’amwekwekerera n’amutta, n’alyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuntu yenna bw'akyawanga munne, n'amuteega, n'amufumita, n'amutta; n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye omuntu bw'anaakyawanga munne, n'amuteega, n'amufubutukira, n'amukuba n'amutta, n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu yenna bw'akyawanga munne, n'amuteega, n'amugolokokerako, n’amufumita okumutta n'okufa n'afa; n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo: