Deuteronomy 19:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abakadde b'omu kibuga kye batumyanga ne bamukomyawo okuva mu kibuga, ne bamukwasa awoolera eggwanga olw'omusaayi afe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abakulembeze abakulu ab’omu kibuga ky’omutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga ery’omusaayi gw’omufu, omutemu n’alyoka attibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale abakadde b'ekibuga kye, banaamutumyanga ne bamuggyayo, ne bamuwaayo eri oyo awooleera eggwanga, n'attibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abakulembeze b'ekibuga ky'ewaabwe banaatumanga abantu ne bamuggyayo, n'aweebwayo mu mikono gy'omuntu ateekwa okuwoolera eggwanga olw'oyo eyatemulwa, attibwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale abakadde b'ekibuga kye, banaatumanga ne bamuggyayo, ne bamuwaayo mu mukono gw'oyo awalana eggwanga ly'omusaayi, afe.