Deuteronomy 19:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tomusaasiranga; okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango kuteekwa okuggyirwawo ddala mu Yisirayeli, olyoke obeere bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temumukwatirwanga kisa, naye muggyangawo omutemu oyo, mulyoke mulabenga ebirungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuumukwatirwanga kisa, naye muggyangawo omutemu oyo mu Yisirayeli, byonna lwe biribagendera obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriiso lyo terimusaasiranga; naye onoggyangawo mu Isiraeri omusaayi ogutaliiko musango, olyoke olabenga ebirungi.