Deuteronomy 19:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tosembezangayo ejjinja erisala ensalo y'ettaka ne muliraanwa wo bajjajjaabo lye balisimba mu busika bw'olifuna mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa ogitwale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tosimbulanga bituuti ebiri mu mpenda eziraga ensalo ya buli muntu ne muliraanwa we, ebyasimbibwawo ab’omu mirembe egyasooka, ebiraga ettaka ly’onoogabana mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe mulituuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, temujjululanga bulambe obwa nsalo za baliraanwa bammwe, ab'edda ze baatekawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu butaka bwe mugenda okufuna mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa mugyefuge, temuukuulenga mpaanyi za nsalo za bibanja bya baliraanwa bammwe, ezinaabanga zimaze okusimbibwa ab'edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tojjululanga nsalo ya muliraanwa wo, ab'edda gye baasimba, mu busika bwo bw'olisika mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya.