Deuteronomy 19:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omujulirwa omu tamala kusingisa muntu musango oba kibi ky'akoze, kibeere kya ngeri ki; ekigambo kikakasibwa n'obujulizi bwa bajulizi babiri oba basatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omujulizi omu taamalenga, okusinzisa omuntu omusango gw’anaabanga azzizza, oba olw’ekikolwa ekibi ky’anaabanga akoze nga kyekuusa ku musango gw’anaabanga azzizza. Wanaamalanga kubeerawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, olwo nno ekivunaanwa omuntu oyo ne kiryoka kinywezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omujulizi omu yekka taasingisenga muntu musango olw'ekibi oba olw'ekintu kyonna omuntu ky'anaabanga asobezza. Ensonga eneekakasibwanga lwa bujulizi bwa bantu babiri oba basatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omujulizi omu yekka taasingisenga muntu musango olw'ekibi oba olw'ekintu kyonna omuntu ky'anaabanga asobezza. Ensonga eneekakasibwanga lwa bujulizi bwa bantu babiri oba basatu. 1 Tim 5:19; Beb 10:28
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omujulirwa omu tagolokokeranga ku muntu olw'obutali butuukirivu bwonna oba olw'ekibi kyonna, mu kibi kyonna ky'ayonoona: olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba olw'akamwa k'abajulirwa abasatu ekigambo kinaanywezebwanga.