Deuteronomy 19:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
weeyawulirangako ebibuga bisatu mu makkati g'ensi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa ogitwale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
weeyawulirangako ebibuga bisatu nga biri wakati mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulyerondera ebibuga bisatu mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulyeronderamu ebibuga bisatu mu nsi yammwe, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okwefuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olyeyawulira ebibuga bisatu wakati mu nsi yo, Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya.