Deuteronomy 19:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalala bwe baliwulira, bagenda kutya, tebaliddayo kukola bifaanana bityo mu ggwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalala bwe banaakiwuliranga banaatyanga, ng’olwo mu mmwe temukyali baddayo kuzzanga musango gufaanana ng’ogwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu abalala banaawuliranga ne batya ne batakola kibi ng'ekyo mu mmwe. N'abo abasigalawo b'anaawuliranga ne batya ne batakola nate okuva ku biro biri obubi bwonna obuli ng'obwo wakati wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu abalala banaawuliranga ne batya, ne bataddamu kukola kibi ng'ekyo mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abasigalawo b'anaawuliranga ne batya ne batakola nate okuva ku biro biri obubi bwonna obuli ng'obwo wakati wo.