Deuteronomy 19:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okolanga enguudo ezigendayo; ensi yo yonna Omukama gy'akuwa ng'obusika, n'ogisalamu ebitundu bisatu ebyenkanankana, oli asse omuntu gy'asobola okuddukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga eby’omu bitundu ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka muligigabanyamu ebitundu bisatu, buli kimu nga kirimu ekibuga eby'obuddukiro, era mulyerimira enguudo ezituuka mu bibuga ebyo. Buli atta omuntu nga tagenderedde addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulyerongooseza enguudo era ne musala mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba eyammwe, n'ebaamu ebitundu bisatu, buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde asobolenga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo ebisatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olyelimira oluguudo, era olisala mu nsalo z'ensi yo, Mukama Katonda wo gy'akusisa, okuba ebitundu bisatu, buli atta omuntu addukirenga omwo.