Deuteronomy 19:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga oli awoolera olw'omusaayi, olw'essungu akyayinza okumuwondera, olw'olugendo okuba oluwanvu n'amukwata, n'amukuba n'afa sso nga taliiko musango gwa kutta, kubanga teyamutta mu bugenderevu oba lwa bukyayi mu kusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bw’anaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ng’amukutte, aleme kusobola kumukwata, naye n’amutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa ekibuga kibeera ekimu, olugendo lwandibadde luwanvu nnyo okukituuka mu, oyo awooleera eggwanga ng'akyalina obusungu olw'omuntu eyattibwa, n'awondera eyatta, n'amutuukako, n'amutta, sso nga teyandittiddwa kubanga gwe yatta teyali mulabe we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa ekibuga kibeera ekimu, olugendo lwandisobodde okuba oluwanvu ennyo okukituukamu, oyo awoolera eggwanga ng'akyalina obusungu olw'omuntu eyattibwa, n'awondera eyatta, n'amutuukako, n'amutta, sso nga teyandisaliddwa gwa kufa kubanga gwe yatta teyali mulabe we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awalana eggwanga ly'omusaayi alemenga okugoberera eyatta omuntu, omutima gwe nga gukyasunguwadde, n'amutuukako, kubanga olugendo lunene, n'amufumita okumutta; so ga tasaanidde kufa, kubanga tamukyawanga lubereberye.