Deuteronomy 19:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga naawe okuumye bulungi etteeka lino lyonna lye nkulagira olwa leero: okwagala Omukama Katonda wo, n'okutambulira mu makubo ge obudde bwonna, oyongerangayo ebibuga ebirala bisatu, n'oyongereza ku biri ebisatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kasita onookwatanga amateeka gonna ge nkulagira leero, kwe kwagalanga Mukama Katonda wo, n’okutambuliranga mu makubo ge, kale ku bibuga bino ebisatu onooyongerangako ebirala bisatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwemuneekuumanga ebiragiro bino byonna okubikola, bye mbalagira leero, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge bulijjo; olwo ku bibuga bino ebisatu, mulyongerako ebibuga ebirala bisatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mukuumanga ebiragiro bino byonna bye mbawa olwaleero, nti mwagalenga Mukama Katonda wammwe era bulijjo mukolenga by'ayagala, olwo ku bibuga bino ebisatu, mulyongerako ebibuga ebirala bisatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'oneekuumanga ekiragiro kino kyonna okukikola, kye nkulagira leero, okwagalanga Mukama Katonda wo, n'okutambuliranga mu makubo ge bulijjo; n'olyoka weeyongerera ebibuga bisatu ebirala ku bino ebisatu: