Deuteronomy 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
[Abeemi be baasooka okubeera eyo. Baali bantu ba maanyi nga bangi, nga bawagguufu ng'Abaanaki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abemi be baabeeranga mu kitundu ekyo, nga basajja banene, nga ba maanyi, nga bangi nnyo, era nga bawanvu okwenkana nga Abanaki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
( Edda Abemi be baatuulanga omwo, nga ggwanga kkulu, ddene era nga bawagguufu nga Abanaki bwe baali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
(Mu biseera ebyo eby'edda, mu Ari mwabeerangamu Abeemi, abaali eggwanga ekkulu era eddene, era nga bawagguufu ng'Abaanaki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Abemi baatuulanga omwo olubereberye, eggwanga ekkulu, era eddene era eggwanvu nga Abanaki bwe bali;