Deuteronomy 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okufaanana ng'Abaanaki nabo baali Barefa, newandibadde Abamowabu baabayitanga Beemi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baayitibwanga Baleefa okufaanana nga Abanaki bwe baayitibwanga, naye Abamowaabu nga bo babayita Bemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nabo nga bayitibwa Balefa, ng'Abanaki; naye Abamowaabu bo baabayitanga Bemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabo baayitibwanga Bareefa ng'Abaanaki, naye nga Abamowaabu babayita Beemi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nabo baayitibwa Balefa, nga Abanaki bwe bali; naye Abamowaabu baabayita Bemi.